Amawulire

Aba TASO basabiddwa okweyambisa Byanyima

Aba TASO basabiddwa okweyambisa Byanyima

Ivan Ssenabulya

September 6th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Ssentebbe wa booda ey’ekitongole kitwala ebyobulambuzi mu gwanga ekya Uganda Tourism Board Daudi Migereko awabudde abekitongole kyobwanakyewa ekya Aids support organization okweyambisa ennyo munna-Uganda Winnie Byanyima eyalondeddwa okukulembera kitongole kya UNAIDS okutwala polojekiti zaabwe mu maaso.

Migereko bino abayogeredde ku tabi lya Taso Jinja, mu ttabameruka waabwe owa buli mwaka.

Kati agambye batekeddwa okutunuliira emikisa nga gino okuteeka amanayi mu kulwanyisa ssiriimu, nebyebakola birabibwe ku mtutendera ogwensi yonna.

Migerekowano abadde ayanukula ku kwemulugunya okubadde kuleteddwa akulira ettabi lino Edmond Tayeebwa eyagambye nti balemereddwa okutukiriza emirmu egimu gyebaali balambika, olwe bbulya ly’ensimbi.