Amawulire
Aba Redcross badukiridde ab’ebundibugyo
Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole kya Uganda Red Cross society kidukiridde abakosebwa amataba mu bitundu bye Bundibugyo.
Okusinzira ku alipoota eyafulumizibwa abantu enkumi 2 mu 834 bebakosebwa ebitagambika oluvanyuma lwokulumbibwa amataba
Red cross bedukiridde kubadeko abatuuze be Kirumya, Bundinagwara1, Bugando 11 Habendu,Kirumya East ne Central nga bano bafunye bulangiti, amasuwani, ebikopo, amasefuliya, sabuni ne bintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo
Omwogezi w’ekitongole kino Irene Nakasiita awadde amagezi abatuuze be Bundibugyo okusenguka ebifo ebirabika nti bya bulabe nga bukyali na ddala mu biseera byenkuba