Amawulire

Aba Owino bakyalwana

Ali Mivule

October 8th, 2014

No comments

Owino mkt

Ab’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu katale ka St Balikuddembe bakontodde akulira abakozi  mu kibuga olw’okuwera empooza

Musisi yaweze okukwata omuntu yenna anetantala okuwooza abasuubuzi.

Abasuubuzi nno beebamulumbye okumulojjera ennaku gyebayitam u okusasula empooza ebajjibwaako

Kati atwala eby’amateeka mu kibiina kya SSLOA Fred Kalema agamba nti Musisi tayinza kubasalirawo kubanga akatale kaabwe

Agambye nti abasuubuzi bonna bakkiriza okuwa empooza okusobola okukulakulanya akatale nga kati teri kwefuula

Wabula abasuubuzi abawakanya obukulembeze bwa SSLOA nga bakulirwa Joseph Lwang bagamba nti ekyasaliddwaawo Musisi kyabasanyudde era ssibakuwa mpooza eno k’abe lubaale oba katonda

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *