Amawulire

Aba NUP basekeredde Poliisi ku butemu bwé Masaka

Aba NUP basekeredde Poliisi ku butemu bwé Masaka

Ivan Ssenabulya

September 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ekibiina kye byobufuzi ekya National Unity Platform kisekeredde poliisi bweyayise ababaka bakyo 2 mbu babeeko bye banyonyole ku butemu bwebijjambiya obukolebwa mu bitundu ebyobwagagavu bwe e Masaka.

Kino kidiridde olunaku lweggulo poliisi okufulumya ebbaluwa eyita omubaka wa Kawempe North mu palamenti Mohammad Ssegirinya nówa Makindye West Allan Ssewanyana babuuzibwe akana na kataano ku byekuusa ku butemu buno.

Mu kwogerako ne Dembe FM amyuka pulezidenti wékibiina kya NUP mu bitundu ebyobuvanjuba bwe ggwanga John Baptiste Nambeshe agambye nti poliisi yayagadde kutulugunya nakuweebula bannakibiina babwe

Bano bakweyanjula ku poliisi enkulu e Masaka olunaku lwebbalaza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *