Amawulire

Aba NUP balayidde obutateesa na gavumenti

Aba NUP balayidde obutateesa na gavumenti

Ivan Ssenabulya

February 7th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Christine Nakyeyune

Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti balayidde nti akediimo kaabwe, kaakugenda mu maaso okumala wiiki 2 okutuusa gavumenti lwenayanukula ku nsonga zaabwe, zebemulugunyako.

Ab’oludda oluvuganya gavumenti nga bakulembeddwamu abakulira Mathiaus Mpuuga, wiiki ewedde bekanadagga nebafuluma palamenti nga bawakanya ekyokutulugunya abantu, okubuzibwawo kwabantu nebirala.

Bawakanya nokuggalira ababaka banaabwe Allan Ssewanyana ne Muhamad Ssegirinya, kooti beyagaana okuyimbula

Nampalawoludda oluvuganya gavumenti, omubaka we Manjiya John Baptist Nambashe agambye nti webasibidde weewo.

Wabula palamenti yaakudamu okutuula olunnaku lwenkya nga zino zezimu ku nsonga ezisubirwa okutesebwako.

Mungeri yeemu, abekibiina kya NUP basambazze ebyokwetaba mu nteseganya ne gavumenti.

Omubaka we Kimaanya Kabonera Dr. Abed Bwanika yeyakoze okusaba kuno, ngagamba nti kyetagisa kulwabantu ababuzibwawo nokutuusa kati abatamanyikiddwako mayitire.

Wabula omwogezi wekibiina Alex Waisswa Mufumbiro agambye nti tebalina nteseganya zonna zebagenda kwetabamu.