Amawulire

Aba NUP bagaanye okwegatta ku mukago gwa IPOD

Aba NUP bagaanye okwegatta ku mukago gwa IPOD

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Unity Platform kisazeewo obutegatta ku mukago omwegatira ebibiina byobufuzi mu ggwanga lino ogwa Inter-Party Organization for Dialogue (IPOD).

Omukago guno ogwatandikawo mu 2010 gwegattiramu ebibiina byobufuzi byonna ebirina ababaka mu palamenti.

Mu nsisinkano eyaliwo nga 26th April 2021, wakati wa bakungu ba NUP naba Netherlands Institute for Multiparty Democracy basabibbwa okwegatta ku mukago.

Wabula ssabawandiisi we kibiina David Lewis Rubongoya, agambye nti begeyezamu obutegatta ku mukago guno.

Bano bagamba nti bamemba ba IPOD balemeredwa okuteeka gavt kunninga okutereza ebikwata kukuteeka ekitiibwa mu ddembe lyobuntu ne nfuga eya mateeka.