Amawulire

Aba NSSF babakunyizza

Ali Mivule

September 9th, 2014

No comments

NSSF

Ssentebe w’olukiiko  olufuga ekitavvu ky’abakozi  Ivan Kyayonka,  ateeeredwa ku ninga anyonyole  lwaki okulondebwa kwabakungu ab’okuntiko kulukiiko olufuzi luno kwalwa okumala ebbanga.

Bwabade alabiseeko maaso g’akakiiko  akalondoola ensonga zino, kyayonka asabidwa mangu dala anyonyole lwaki okulondebwa kwa Edgar Agaba, Patrick Ayota ne Richard Wabwire kwali kwabireego .

Ababaka okubade Alex Ruhunda, Theopista Nantongo ne Vincent Bamulangaki, batabukide kyayonka nga bagamba nti yakola kinene okumala gamansa nsimbi zabakozi , bamale bagule emigabo mu UMEME awataali kwebuuza  kumala.

Wabula bino byona Kyayonka abyesamudde, bwategezezza  ababaka nti eby’okulonda abakulu bano bisaana bibuzibwe minisita akola ku by’ensimbi Maria Kiwanuka

Kakano akakiiko kategesse okuwayaamu n’eyali akulira ekitongole kino Richard Byarugaba leero

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *