Amawulire
Aba LDU babalumirizza okutta omuntu
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Kavule mu munisipaali ye Mukono baguddemu entiisa, mutuuze munaabwe bwasangiddwa nga yatugiddwa.
Omugenzi ategerekeseko lya Ssali ng’abadde muyoozi wa kasasiro mu kibug, wabula kiteberezebwa nti kulwe Nabuuti.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Anne Binaisa Kaitiro ssentebe we’kyalo awagudde enjega eno, balumiriiza abavubuuka abeggye ekuuma byalo erya LDU okubaako kyebamannyi ku butemu buno.
Poliisi ejjeewo omulambo negutwala mu ddwaliro e Kawolo okwongera okwekebejebwa.