Amawulire
Aba LC1 muyambe ku ky’okukozesa abaana abato
Bya Benjamin Jumbe, Minisitule ye byenjigiriza ne by’emizannyo esabye abakulembeze ba LC bakulemberemu kawefube w’okulwanyisa okukozesa abaaana abato.
Kino wekigidde nga abaana bangi abali mu myaka egy’okugenda ku masomero bakozesebwa emirimu emikakali.
Kamisona mu byenjugiriza Dr Tony Mukasa Lusambu asabye abakulembeze be bitundu okulondoola ensonga eno bafube okulaba nga teri mwana alina kuba kusomero adda mu kukozesebwa songa n’abazadde ababakozesa asabye bakangavulwe.