Amawulire

Aba Kaweesi babongeddeyo ku alimanda

Ali Mivule

July 13th, 2017

No comments

Bya Ruth Andera

Abantu 20 abavunaanibwa okutta eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi babongeddeyo ku alimanda e Luzira nga tebanamanya wa okunonyereza wekutuuse ku musango gwabwe.

Kino kiddiridde balooya ba gavumenti okuyingira olunaku olwokubiri nga bediimye ekikosezza enyo emirimu gya kkooti.

Omulamuzi Noah Sajjabi atunuddettunudde mu kkooti nga teri avunaana bantu bano omusango nagwongerayo okutuusa nga July 26.

Balooya ba gavumenti olunaku lw’eggulo baatadde wansi ebikola nebewera obutadda ku mirimu okutuusa nga bongezeddwa ku musaala.

Munnamateeka owawansi afuna emitwalo 64 sso nga omukulu afuna obukadde bubiri mwemitwalo 10 zebagamba nti ntono ddala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *