Amawulire

Aba FDC batiisiza okwabulira omukago gwa IPOD

Aba FDC batiisiza okwabulira omukago gwa IPOD

Ivan Ssenabulya

July 25th, 2022

No comments

Bya Damali Muhkaye,

Ekibiina kye by’obufuzi ekya FDC kiyise akakiiko akafuzi akókuntiko okutuula mu bwangu bakubaganye ebirowoozo ku kyekibiina okwabulira omukago omwegatira ebibiina byobufuzi ebirina abakiise mu palamenti ogwa IPOD

Kino kyaddiridde pulezidenti w’ekibiina kya Democratic Party, Nobert Mao okussa omukono ku ndagaano y’okukkaanya ne Pulezidenti Museveni n’alondebwa okuba Minisita mu kabineti ya Pulezidenti Museveni.

Bwabadde ayogera eri bannamawulire ku ofiisi zaabwe e Najjanankumbi, omumyuka w’omwogezi w’ekibiina John Kigonyogo agamba nti okuva Moa lwe yeegasse ku Museveni, tebakakasa oba DP yeetongodde era egenda kulonda nga yeetongodde