Amawulire

Aba FDC bakungubagidde Njuba

Ali Mivule

December 16th, 2013

No comments

 

       njuba here                            

Ba memba b’ekibiina kya FDC olunaku lwaleero bakungubagidde eyali ssentebe w’ekibiina kino Sam Kalega Njuba.

Omulambo gwa Njuba gutuuse ku maka ga FDC e Najjanankumbi ku ssaawa musanvu olwo bannakibiina nebatandika okumukubako eriiso evvanyuma n’okutendereza ebirungi by’akoze.

Bano beegattiddwaako bannabibiina ebirala.

Akulira ekibiina kya FDC Gen Mugisha Muntu ategeezezza nga omugenzi bw’agenda okutwaliddwa mu maka ge e Nangabo ng’eno gy’;agenda okugyibwa olunaku lw’enkya okusabirwa n’oluvanyuma aziikibwe.

Yye omwogezi wa FDC Wafula Oguttu agamba nti eby’okuziika babivuddemu nebabirekera ab’omumaka g’omugenzi ne gavumenti olw’enkyuukakyuuka ezibadde zibaawo buli kaseera

Kigambibwa okuba nti wabaddewo okusika omuguwa wakati wa gavumenti n’ab’omu maka ge nga tebagaala atwalibwe mu palamenti kyokka nga bamaze nebategeragana era ng’omugenzi wakubeera mu palamenti olunaku lw’enkya