Amawulire

Aba FDC bakufuna munnamateeka anonyereze kunfa ya Bentungura

Aba FDC bakufuna munnamateeka anonyereze kunfa ya Bentungura

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ekibiina kye byobufuzi ekya FDC kigamba kyakupangisa munnamateeka owabwe okunonyereza ku butemu obwakolebwa ku memba wekibiina, Omuyizi wa Uganda Christian University student Michael Buwatte Bentungura eyattibwa mu ssabiiti ewedde.

Ono yattibwa abantu abatanategerekeka bweyali agenze ku ssettendekero e Makerere, okunonyeza mukwanogwe akalulu, Justus Tukamushaba, eyesimbyewo ku bwa guild president.

Kigambibwa nti waliwo okusika omuguwa mu kampeyini z’obwapulezidenti ku lunaku olwa ssembayo wakati w’abawagizi b’ekibiina kya National Unity Platform n’aba FDC omugenzi

Amyuka omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti okuva Bentungura lwe yali mu kibiina kyabwe, bamaliridde okuyamba famire ye okufuna obwenkanya.