Amawulire

Aba FDC bagala Muhoozi agobwe mu Magye

Aba FDC bagala Muhoozi agobwe mu Magye

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2022

No comments

Bya Damali Mukhaye, ne Rita Kemigisa,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Forum for Democratic Change (FDC) kisabye mutabani wa pulezidenti Muhoozi Kainerugaba agobwe mu magye nga kigambibwa nti yaswaza eggwanga.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC, Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti Muhoozi, abadde addumira amaggye ga Uganda agókuttaka’ yatyoboola ekitiibwa kye ggwanga lya Kenya okuyita ku mikutu gye ogwa Twitter.

Nganda agamba nti FDC eyagala Muhoozi ayingire mu kkooti y’amagye, agobwe mu magye ate asindikibwe mu kkomera.

Ayongeddeko nti ekyokugobwa ku mulimu ólwe mpisa ensiwuufu kirambikiddwa mu tteeka lya UPDF act akatundu 145

Wabula Aba FDC gwe bagala ogobwe mu magye ate olunaku olwaleero ayambaziddwa ebitiibwa ebigya ebyamugonomolwako omukulembeze weggwanga era Kitaawe YK Museveni.

Museveni yakuza Muhoozi okumugya ku ddaala lya Lt. Gen. namufuula Generaali omujjuvu mu maggye yadde nga ate yamugya ku kifo kyakulira amagye agokuttaka.

Omukolo ogwokumwambaza amayinja ge gubadde wali ku kitebe kya magye e Mbuya nga gukulidwamu omuwabuzi wa pulezidenti kunsonga za magye Gen Salim Sleh.