Amawulire

Aba Famile emu bafiiridde mu kabenje

Ali Mivule

April 10th, 2017

No comments

Bya Magembe ssabbiiti

Taata  abadde  atambula  n’omwana we  ow’omwaka  ogumu n’ekitundu  nga bagenda  ku  duuka  okubako  kyebagula  batomeddwa  ebatiddewo.

Motoka  ekoze  akabenje  kano  yakika  kya  Premio namba UAW 643B  nga era ebadde edda Fortportal era omugoba waayo tayimiriddemu.
Abagenzi ye   Maliyusi Kakunda   owemyaka  38 ne  mutabani  we JoshuaTwinemujuni ow’omwaka  ogumu n’ekitundu .

Abatuuze batabukidde poliisi nebategeeza nga bwebazzenga balabula poliisi okuteeka obufunvu ku luguudo luno nga buteerere.

Kansala  akikirira  ekitundu  kino  mu lukiiko  lwa  municipality Kabogere  Benoni  ategezeezza  nga  bwebakola  alipoota  ku  bubenje obuzze  bugwa  mu   kitundu  kino  okuva  mwaka  gwa  2001 ne
bagikwasa   poliisi   nga  kati  abantu  abasoba  mu  90 bebakafiira  mu kabuga  kano  wabula  nga  nejebuli  eno  Poliisi  wamu  ne  UNRA  kwosa  abakulembeze  berema  okuteeka  Hamps mu kifo  kino
.
Emirambo  poliisi  egijewo  negitwalibwa  mu  ddwaliro  ekkulu eMubende  okwokebejebwa  nga  n’okunonyereza  bwekugenda  maas

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *