Amawulire

Aba DP baweze okwasanguza abakungu ba Gavt abenyigidde mu kulya eza Covid

Aba DP baweze okwasanguza abakungu ba Gavt abenyigidde mu kulya eza Covid

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kitegeka kuvaayo ne kawefube gwe batumye ‘’Name and Shame’’ campaign agenderedde okwasanguza amaanya ga bakungu ba gavt abenyigidde mu kuwuwutanya ensimbi ezókulwanyisa ekirwadde kya covid-19 singa gavumenti tevaayo ku mbalirira kunsimbi zesasanyiza mu lutalo olwokulwanyisa ekirwadde kino.

Kino kidiridde abakwatibwako ensonga abawerako okuteeka gavumenti kunninga ewémbalirira ku buli nnusu gyesasanyiza mu kwenganga ekirwadde bukya kibalukawo mu ggwanga ezaweebwayo bannauganda námawanga amagabi góbuyambi

Omwogezi wa DP, Okoler Opio atadde gavumenti kunninga enonyereze ku bakungu baayo bonna abenyigidde mu kuwuwutanya ensimbi ezokulwanyisa ekirwadde era bavunanibwe oba sikyo DP yakubasanguza bannauganda babategeere.

Opio wayogeredde bino nga ne bibiina byobwannankyewa byakavaayo ne biteeka omuteesiteesi omukulu owa minisitule eye Dr Diana Atwine alekulire omulimo gwe nga balumiriza nti alemereddwa okuwa embalirira kunsimbi minisitule zeyakakozesa mu kulwanyisa ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *