Amawulire

Aba DP bawabudde KCCA kukyókugoba ababodaboda

Aba DP bawabudde KCCA kukyókugoba ababodaboda

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kya Democratic Party kiwadde ekitongole ekidukanya ekibuga kampala ekya Kampala Capital City Authority amagezi okuyiiya butya bwebasobola okulwanyisamu omugoteko mu kibuga nga tebagobye bavuzi ba bodaboda.

Kino kidiridde entekateeka ye kitongole kino okulaga nga bwebagenda okugoba bodaboda ne taxi mu kibuga bazisikize baasi za Tondeka ezisobola okutwala abantu abangi ne kigendererwa ekyokukendeza ku mujjuzo nokulongooka kwempewo esibbwa mu kampala.

Wabula mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina Kampala, munnamateeka wa DP, David Luyimbazi Nalukoola agambye nti ekibuga Kampala kyazimbwa bantu bawansi nga kati okubagoba nga kikulakulanye tebuba bwenkanya.

Ono awabudde KCCA mukifo kyokugoba abaodaboda nabataxi bongeze omusolo ku motoka ezobwannanyini eziyingira mu kibuga kye kinayambako okukendeza ku bungi bwazo.