Amawulire

Aba DP bawabudde Gavt kungeri yókulwanyisamu obumenyi bwámateeka

Aba DP bawabudde Gavt kungeri yókulwanyisamu obumenyi bwámateeka

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina kyébyóbufuzi ekya Democratic Party kiwadde ebitongole ebikuuma ddembe amagezi okweyambisa abatuuze mu kulwanyisa obumenyi bwamateeka obukudde ejjembe mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti olwa bakuuma ddembe okutulugunya enyo bannauganda kati tebakyabalinamu bwesige.

Ono agamba nti obutemu bwebijjambiya obubadde mu bitundu byobwagagavu bwe Masaka omufiiridde abantu abakunukiriza mwa 30 tebwali sajjuse singa waliwo enkolagana ya bakuuma ddembe nomuntu wa wansi

Abantu abasoba mu 70 bebakakwatibwa ku byekuusa ku butemu buno.

Nolunaku lweggulo poliisi yakunyiza ababaka be kibiina kya NUP 2 okuli owa kawempe North Muhammed Ssegirinya nowa Makindye west Allan Ssewanyana oluvanyuma lwokutegeza nti bebategeka obulumbaganyi buno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *