Amawulire

Aba DP batiisatiisiza okutwala Gavt mu kkooti

Aba DP batiisatiisiza okutwala Gavt mu kkooti

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party kitiisatiisiza okutwala gavt mu mbuga za mateeka olwokutyoboola eddembe lyobuntu mu muggalo gwe nnaku 42 ogwakagwa.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wa DP Okoler Opio, agambye nti bateekawo ekifo abantu abatulugunyizibwa abakuuma ddembe mu biseera ebyomuggalo gyebatwala okwemulugunya kwabwe kunsonga ezokutyoboola eddembe lyabwe.

Nga muno mwalimu abakubwa emiggo ate aballa bakwatibwa mu bukambwe nga balangibwa okutambulira mu budde bwa kafyu ne mirala

Opio atubuulidde nti bannamateeka babwe bakyatekateeka bujjulizi bwebagenda okutwala mu kkooti kunsonga eno.

Bweyali ayogerako eri eggwanga kunsonga zebyokwerinda né ddembe lyóbuntu omukulembeze weggwanga yavumiridde ekya bakuuma ddembe okukakana ku bannansi ne babakuba emigoba nte nga kwogase okubatulunya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *