Amawulire

Aba CMI bakutte omutuuze némmundu e Mukono

Aba CMI bakutte omutuuze némmundu e Mukono

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Ekitongole ekikeesi ekya CMI kikutte omutuuze n’emmundu kika kya AK47, okuva ku kyalo Buliika mu gombolola ye Nama mu disitulikiti ye Mukono.

Okusinziira ku ssentebbe w’egombolola ye Nama, John Bosco Isabirye, omukwate mutuuze mu kitundu kye.

Amyuka omubaka wa gavumenti e Mukono Richard Bwabye akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono, amannya agasirikiddwa nayenga okunonyereza kugenda mu maaso.