Amawulire

Aba CCEDU bawandikidde pulezidenti
Bya Ivan Ssenabulya
Ekibiina, ekirondoola ebyokulonda mu gwanga, Citizens Coalition for Electoral Democracy in Uganda, basabye omukulembeze we gwanga okukola ku nsonga, ezimaze bbanga, nga zikandaliridde, ku byokulonda.
Mu bbaluwa gyebawandikidde presidenti, YKM nga 19th January, baanokoddeyo, ensimbi empitirivu, ezikozesebwa mu kulonda, enguzi, okukendereeza kwobwesige bwabantu mu kulonda, okulwanagana, nebiralala.
Omukwanaganya wa CCEDU, Crispy Keheru, alaze obwetaavu, bwensonga zino okukolebwako, mu bwangu, wakati mu kwetegekera okulonda kwa 2021.
Ono, agambye nti ensimbi, obwesedde 3 ezakozesebwa mu kulonda awamu, okwagwa, mpitirivu, nga zikola 12.5% ku mbalirira ye gwanga awamu.
Kinajjukirwa ne kooti, ensukulumu,oluvanyuma lwokulonda kwa 2016 yalamula wabeewo, ebikyusibwa, gamba ngokulola engosereza, ezanamaddala mu ssemateeka namateeka gebyokulonda.