Amawulire

7 babakutte ku by’okubba pikipiki

7 babakutte ku by’okubba pikipiki

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Poliisi e Masaka eriko abantu 7 begalidde ku misango gyowetaba mu bubbi bwa pikipiki.

Abakwate kuliko Timothy Musasizi Sikyumu, Hussein Kambugu, Yuda Kikesibo, Katongole Shafic nabalala nga batuuze mu district ezenjawulo, ezikola obwagagvu bwe Masaka.

Bano baakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa flying squad mu bitundu ebyo.

Kati omwogezi wa poliisi mu kitundu Paul Kangave, agambye nti era baasobodde okununla pikipiki 5 ezaali zabbibwa.