Amawulire

5 bakwebaka mu kkomera lwanvuba mbi

5 bakwebaka mu kkomera lwanvuba mbi

Ivan Ssenabulya

July 29th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah ne Abubaker Kirunda,

Abantu 5 basaliddwa ekibonerezo kyakwebaka mu kabula muliro okumala emyezi 11 oba okusasula emitwalo 90 oluvanyuma lwokusingisibwa omusango gwokusangibwa nga bavuba songa tebalina lisensi

Bano nga bakulembedwamu Moses Ouma bwebalabiseeko mu maaso gómulamuzi oweddala erisooka Marion Mangeni ku kkooti eyókuluguudo Buganda bakkiriza emisango gyabwe.

Era bakkirize ne kyokukozesa obutimba bwa KOKOTA obwawerebwa mu byenvuba.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano omusango baguza 30th omwezi gwa 6 2021 ku mwalo e Nyanamu e Buvuma.

Ate omulamuzi we ddaala erisooka e Kaliro Irene Namaye aliko abantu basatu basalidde okwebaka mu kkomera ennaku 20 lwakujemera biragiro byomukulembeze weggwanga.

Abasalire bonna batuuze mu kabuga ke Kaliro nga basangibwa batambulira mu budde bwa kafyu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *