Amawulire

Lukwago atendewaliddwa

Ali Mivule

December 30th, 2013

No comments

Lukwgao sad

Loodimeeya Erias Lukwago agobye abakuumi be.

Obuzibu buvudde ku nsimbi nga takyalina zibayimirizaawo.

Ng’ayogerako eri bannamawulire, Lukwago agambye nti emmotoka abaasirikale bano mwebaali batambulira yafa kyokka olw’agitwaala okugikola n’ewambibwa.

Okuva olwo y’abadde abalabirira ng’akozesa emmotoka ye okubasomba buli ku makya n’akawungeezi kyokka ng’atendewaliddwa olw’obutafuna musaala

Mu ngeri yeemu era abakola mu ofiisi ya loodimeeya okuli n’omuwandiisi we nabo tebasasulwa nga bonna kati tebaakyakola

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *