Amawulire

4 bebakwatiddwa ku by’obutemu e Mityana

4 bebakwatiddwa ku by’obutemu e Mityana

Ivan Ssenabulya

March 12th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi e Mityana ekutte abantu 4, nga bekuusa ku butemu obwakoleddwa ku Florence Babirye owemyaka 38 omutuuze we Namatunku mu gombolola ye Manyi.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Rachel Kawala, obutemu buno bwaliwo mu kiro Kyolwokusattu abatamanya ngamba bwebasobya ku mukazi ono, oluvanyuma nebamutuga nebamutta.

Agambye nti poliisi yatuuse mu kifo awabadde ettemu lino, nejjawo obujulizi bweyeytaaga, era okunonyereza okuzuula ebisingawo kugenda mu maaso.

Omulambo gutwaliddwa mu gwnaika lye ddwaliro ekkulu e Mityana, okwkeebejebwa.

Wabula Kawala agambye nti bakutte abantu 4, bayambeko mu kunonyereza.