Amawulire

4 bakwatibwa e Mayuge ku gy’obutemu

4 bakwatibwa e Mayuge ku gy’obutemu

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda, Ate abantu 4 bakwatiddwa poliisi e Mayuge nga bateberzebwa nti betaba mu butemu n’obubbi obwakolebwa ku sundiro ly’amafuta.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi agambye nti abakwate bebatta Ivan Kabaya eyali omukozi ku Total mu kabuga ke Magamaga.

Mubi agambye nti bano bajja ku sundiro lino ne basooka bagula eby’okunywa bye bawaako omukuumi n’omugenzi oluvanyuma ne banyagulula obukadde 9.

Poliisi egamba nti yakozesa embwa ezikonga olusu okubatuusa ku nnyumba, bano mwe baali bekwese.