Amawulire

300 bayoleddwa mu kikwekweto

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

mbarara opeartions

Poliisi ekoze ekikwekweto tokowenja okufuuza abbabbi abakutte wansi ne waggulu mu bugwanjuba bw’eggwanga.

Abantu abasoba mu 300 beebayoleddwa mu kikwekweto kino nga bano bagyiddwa mu mayumba gaabwe, ‘ebifo ebilala poliisi bw’eyise.

 

Ekikwekweto kino kyetabiddwaamu ne bannamaggye

 

Ebissi ebyenjauwlo bizuuliddwa omuli obwambe, ebiso n’ebilala.

Aduumira poliisi mu kitundu kino, Martin Abilu agambye nti abayoleddwa bagenda kuddamu okubekenyeenya okujjamu ababi, abatalina musnago bayimbulwe

Abilu agamba nti bagala kuzuula bazigu kkungwe abajojobya aba division ye Kakoba .

 

Bino byonn abiddiridde okuttibwa kw’omukozi mu kitongole ky’ensi kyonna eikola ku byemmere mu kiro kya bbalaza

 

Abantu batannategerekeka baafumita Andrew Mpandi ebiso ebyamuttirawo bweyali ava mu kivvulu kya ba Egales mu kibuga