Amawulire

27 Bebawereddwa ebitanda e Mulago, 17 mu ddwaliro lya KCCA

27 Bebawereddwa ebitanda e Mulago, 17 mu ddwaliro lya KCCA

Ivan Ssenabulya

November 16th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abantu 27 bebawereddwa ebitanda, mu ddwaliro ekkulu e Mulago, oluvanyuma lwokubwatuka okwemirundi okubadde mu kibuga amakya ga leero.

Okubwatuka okusooka kubadde ku Kooki-Towers, okumpi n’ekitebbe kya poliisi ekya CPS mu Kampala.

Okulala kubadde ku Raja Chambers, ku Parliament Avenue.

Dr Rosemary Byanyima, amyuka akulira eddwaliro ly’eMulago aakakasizza nti ku bantu bebali mu ddwaliro, 7 bali mu mbeera mbi.

Ate abantu 17 bakakasiddwa nti bebalumiziddwa oluvanyuma lw’okubwatuka okubadde ku Raja Chambers ku Parliament Avenue.

Kino kikakasiddwa Dr Sarah Zalwango akulembeddemu abasawo abajanjabye ba kawonawo, ku ddwaliro lya KCCA.

Agambye nti abantu 5 babajanjabye, 12 baboneddeyo mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Abebyokwerinda bazinzeeko ebifo ebibiri, ebibaddemu okubwatuka mu masekati gekibuga Kampala, amakya ga leero.

Ebizimbe ebyetolodde ebifo bino, byonna byetoloddwa abebyokwerinda era abantu ababikoleramu baawereddwa obutasukka ssaawa 7, okuba nga babifulumye bazeeyo ewaka.

Abakozi ku KCCA neku palamenti, bonna baalagiddwa okufuluma.

Yye Ssentebbe owe gombolola yaasekati gekibuga Kmapala, Salim Uhuru, aliko byatunyonyodde ku kubwatuka okubaddewo, awo okulinaana CPS.

Abamu ku ba kawonanwo, oluvanyuma lwokubwatuka okubadde ku Paraliamnt Avenu baliko byebatubuliidde.

Ate palamenti esazizaamu, olutuula lwayo olubadde lutekeddwa okuberawo akawungeezi ka leero.

Kino kidirirdde ekiragiro okuva mu byokwerinda, ebizimbe ebirinaanye awabadde okubwatu abantu babbyamuke.

Kati palamenti eyisizza obubaka ku mukutu gwayo ogwa twitter, nebalangirirra nti palamenti tegenda kutuula.