Amawulire

Engo elumbye ab’emasaka

Engo elumbye ab’emasaka

Ali Mivule

August 18th, 2016

No comments

engoAbatuuze ku kyalo Kilumba mu gombolola ye Katwe Butego mu disitulikiti ye masaka bali mu kutya oluvanyuma lw’okulumbibwa engo .

Okusinziira ku batuuze engo eno ebamalidde ebisolo nga ambizzi, embuzi wamu n’enkoko nga era omu ku bakoseddwa Peter Ssembabtya agamba yakafiirwa embizzi 5 mu nnaku 2 eziyise.

Agamba ennaku zino babadde basula bakuuma biyumba bya mbizzi zaabwe wabula baabadde bagenze okufuna ku kyokulya engo n’edda n’etugayo embizzi endala 2.

Aduumira poliisi mu bukiika ddyo bw’eggwanga Maxwell Ogwal agamba baawandikidde dda ekitogole ky’ebisolo byomunsiko okusindika abakugu okukwata engo eno wabula n’asaba abatuuze okukuuma abaana baabwe n;okwewala mu budde bwekiro.

Ssentebe w’ekyalo Kilumba George William Kivumbi asabye abatuuze okwewala okutambula ku makya enyo kubanga engo eno yandibatuusako obulabe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *