Skip to content Skip to footer

Bana bakwatiddwa lwakutunda ddagala Mulago

Kasinga

Abantu bana ababadde batunda eddagala mu ddwaliro e Mulago mu bumenyi bw’amateeka bakwatiddwa

Ku bakwatiddwa kuliko n’omuyindi nga bano babadde bekobaana n’abasawo mu ddwaliro okuguza abalwadde eddagala eririna okuba ery’obwereere.

Mu ddagala lyebabadde batunda kwekuli erya sukaali.

Akulira poliisi y’okuddwaliro lye Mulago Hashim Kasinga agamba nti abantu bano baliko beebabbye.

Wabula bbo abakwatiddwa bino babiwakanyizza nebategeeza nga bwebabadde batatunda ddagala lya gavumenti nga batunda lyaabwe.

Leave a comment

0.0/5