Skip to content Skip to footer

Poliisi e Kyankwanzi awenja abatemudde Nnamwandu

Bya Ronald Ssenvuma,

Police mu district ey’e kyankwanzi ebakanye nedimo eryokunonyereza ku ttemu erikoleddwa ku Nnamwandu Nakamya Federesi nga kigambibwa nti yalumbiddwa abebijambiya 2 abaamutemyeetemye okutuusa lwebamumiziza omusu.

Omwogezi wa police mu bitundu bye wamala Rachael Kawala bwabadde ayogerako eri abamawulire agambye nti ekikangabwa kino kigudde ku kyaalo Nkandwa mu gombolola ye Ntwetwe abantu 2 abatanategeerekeka bibakwaatako balumbye amaka g’omukyala  ono ne bamutemaatema nga bageenze okumuddusa mu kalwaaliro akabadde okumpi nga yasiza dda ogusemba.

Afande Kawala aweze nga bwebabakannya dda nomuyiggo gwabakoze etemu lino