Skip to content Skip to footer

Museveni agugumbudde abagala okubongeza emisaala

Bya Rita Kemigisa,

Omuk Museveni amazeemu amaanyi abasirikale ba UPDF nábakozi ba gavumenti abalala abasindiikiriza okwongezebwa omisaala.

Museveni ayise abasaba okwongezebwa omusaala abanyunyunsi kubanga tebaagala ggwanga n’agattako nti eggwanga teriyinza kukuumibwa singa abajaasi n’abakozi abalala basasulwa ssente nnyingi.

Ono era avumiridde abasaba ensako ng’agamba nti balina endowooza enkyamu era balina okulekera awo okunyigiriza gavumenti.

Museveni akubiriza abakozi ba gavumenti okwetanira enkola ya Gavumenti ya NRA gyeyagya nayo okuva munsinko, abantu babeere ne mwoyo gwa ggwanga mu kifo kyokulowoooza kunsimbi

Ono okwogera bino nga abasawo ku mitendera egyenjawulo bali mu kwekalakaasa lwa nsonga ya misaala nóbusiimo bwabwe.