Skip to content Skip to footer

Laddu esse omukyala owémyaka 70 e Mayuge

Bya Abubaker Kirunda,

Laddu ekubye omukazi ow’emyaka 70 mu Disitulikiti y’e Mayuge n’afiirawo.

Omugenzi ye Walyonka Mutesi omutuuze ku kyalo Walumbe mu gombolola y’e Bukatube mu disitulikiti y’e Mayuge.

Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino Anthony Obwinyi agamba nti omugenzi Laddu emusanze mu nnyumba ye eyessubi era laddu bweyagikubye ne kwata muliro

Obwinyi ayongerako nti omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa mu ddwaliro okwekebejjebwa.