Amawulire

Muntu asabye bannankyukyuka obutava ku mulamwa

Muntu asabye bannankyukyuka obutava ku mulamwa

Ivan Ssenabulya

March 4th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Senkagale w’ekibiina kye by’obufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ki Alliance for National Transformation, Rtd Maj. Gen. Mugisha Muntu azeemu okusaba bannakyukyuka obutava ku mulamwa yadde waliwo ebibasoomoza.

Muntu ategeezezza Dembe FM nti olutalo lw’okukyusa obuyinza mu mirembe mu Uganda si lwangu n’akatono olw’embeera eriwo nga bannabyabufuzi ku ludda oluvuganya tebafuna mwaganya kweyagalira mu nkola y’ebibiina ebingi.

Okwogera kwe kiddiridde kye yayise okulonda okw’obulimba okwabaddewo mu kulonda omubaka wa palamenti mu ssaza ly’e Serere okwakaggwa, akakiiko akebyokulonda gyekalangiriridde Emmanuel Omoding Okabe eyesimbawo ku bwannamunigina ku buwanguzi oluvannyuma lw’okufuna obululu 15638 n’akuba abalala bana abavuganya. Yaddirirwa Phillip Oucor owa NRM n’obululu 13206, Alice owa ANT yakwata gyakusatu.

Muntu agamba nti mukakafu nti Alaso yandibadde awangula akalulu kano singa kaali ka ddembe n’obwenkanya.

Wabula agamba nti tewali kigenda kubagya ku kirowoozo kyabwe eky’okulaba nga Uganda ennunulwa.

Bwatyo asabye bannankyukyuka bonna obutava ku mulamwa okuyita mu kugwamu essuubi.