Amawulire

Amaggye gegaanye ebyókutulugunya omuwagizi wa NUP

Amaggye gegaanye ebyókutulugunya omuwagizi wa NUP

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Aggye lye ggwanga erya UPDF lisambazze ebigambibwa nti lyawamba n’okutulugunya omuwagizi w’oludda oluvuganya gavumenti.

Kino kiddiridde ebifaananyi okuvaayo nga biraga omusajja alina obubonero obuteeberezebwa okuba nga yatulugunyizibwa mu kifubakye.

Ebifaananyi bino byasoose kufulumizibwa mukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine eyagambye nti omuwagizi we, Eric Mwesigwa yabula wiiki bbiri eziyise.

Yeewozezzaako nti Mwesigwa ye yanyumya ekizibu kye yayitamu mu mikono gya bakuuma ddembe ng’agamba nti ab’ebyokwerinda baamyokya n’ebyuma ebyokya mu kifuba

Wabula omwogezi w’amagye, Brig Gen. Felix Kulaigye mu bubaka bwa afulumizza ku mukutu gwe ogwa Twitter n’ategeeza nti tewali kitongole kya byakwerinda kirina Mwesigwa nga bwe kigambibwa oluvannyuma lw’okunoonyereza okujjuvu.

Bano bawadde Mwesigwa amagezi okuloopa mu butongole mu kakiiko akavunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission (UHRC) oba okuloopa ku poliisi okunoonyereza kutandike.