Amawulire

Gavt essabiddwa okwongera okugya omusolo ku Bagaggafugge

Gavt essabiddwa okwongera okugya omusolo ku Bagaggafugge

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole kyóbwannakyewa ekya Oxfam kiwadde gavumenti amagezi okwongera okunyweza emiwatwa egiri mu nsasula y’omusolo, bannagagga mwebayita okugyepena kileetewo obw’enkanya eri abawi bómusolo mu gwanga.

Bino bibadde mu kukubaganya ebilowoozo ku musomo ogukwata ku musolo n’enkunganya yagwo nga batunuulidde abantu abalina ensimbi enyingi, akulira Oxfam mu Uganda Francis Odokorach ategeezezza ng’okujja omusolo ku bagagga bwekijja okuyamba abaavu abakunseere.

Agamba nti Uganda efunye ebizibu bingi ebyongedde okunyigiriza baamufunampola nga kyogedde okuletawo omuwatwa wakati w’omwaavu n’omugagga.

Kati agamba nti ekigenda okuziba eddibu elyo kwekujja omusolo ku bagagga n’ebitongole ebinene omusolo oguwera.

Okuzinziira ku Banak y’ensi yonna, obwaavu obusukkiridde bweyongera mu mwaka 2020 omulundi ogusookedde ddala mu myaka 25 ate n’abagagga baagaggawadde nnyo okuva ekilwadde ki Covid19 lwekyabalukawo.