Amawulire

Besigye agamba bannauganda bali mukuwudisibwa kubyókulonda kwa 2026

Besigye agamba bannauganda bali mukuwudisibwa kubyókulonda kwa 2026

Ivan Ssenabulya

November 10th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eyali yeesimbyewo ku bwapulezidenti emirundi ena, Dr Kiiza Besigye agamba nti ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM kiwugula Bannayuganda okuva ku buzibu bw’ebyenfuna obuliwo kati okudda ku pulezidenti addako mu mwaka 2026.

Kino wekijjidde nga bannansi bangi basobeddwa ku ani pulezidenti addako mu kulonda kwa 2026 nga mutabani wa Pulezidenti Muhoozi Kainerugaba ateeberezebwa okuba nti ayagala entebe ya kitaawe songa ne kitaawe Yoweri Museveni aliko abatandika edda okumuperereza addemu yesimbewo.

Kati bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za FDC, mu Kampala, Besigye agambye nti kano kakodyo ka kuwugula Bannayuganda abaavu obutawakanya ebbeeyi y’ebintu eri waggulu ne mbeera yobwavu eyeyongera buli lukedde.

Bwatyo asabye Bannayuganda obutakkiriza kuwugulwa mu kulwanirira ddembe lyabwe mu by’enfuna ne mumbeera z’abantu wabula bayimuse amaloboozi okutuusa ng’enkyukakyuka etuuse.