Skip to content Skip to footer

Abantu 11 bebakakwatibwa ekirwadde kya Ebola

Bya Rita Kemigisa,

Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza abantu abalala 3 okuba nga bafudde ekirwadde kya Ebola mu ssaawa 24 eziyise ekivuddeko omuwendo gw’abafudde okutuuka ku bantu 11.

Ekiwandiiko okuva mu minisitule kiraga nti abantu abalala 4 bakwatibwa Ebola mu ssaawa 24 eziyise, omuwendo gw’abalwadde guweze 11.

Basatu ku bafudde babadde bali mu kwawulibwa ate 8 babadde mu bantu

Abalwadde 25 baweereddwa ebitanda nga ku bano 6 bakakasiddwa okuba ne Ebola ate 19 bateeberezebwa okuba nabwo.