Bya Benjamin Jumbe,
Minisitule ya Kampala eragidde mootka zonna eza taxi ezisaabaza abantu nga zikwata ebitundu by’e Ntebe okudda mu Park ya Usafi ne Kisenyi mu bwangu.
Minisita wa Kampala Hajat Minsa Kabanda agamba nti eno yengeri yokka egenda okutebenkeza ekibuga n’okumalawo omugotteko mu bitundu bano mwebabadde bakolera.
Agamba nti bano mu Park Enkadde kekadde bamukeyo kulwobulungi bw’e ntambula mu Kampala.