Amawulire

Ssegirinya yejerezebwa omusango ogw’okukuma omuliro mu bantu

Ssegirinya yejerezebwa omusango ogw’okukuma omuliro mu bantu

Ivan Ssenabulya

September 12th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Court y’okuluguudo Buganda yejjeereza Omubaka wa Parliament Mohammad Ssegirinya nga mu kiseera kino atemeza mabega wa mitayimbwa emisango gy’okukuma mu bantu omuliro egyamuggulwako oluvanyuma lw’okulonda okwa bonna okwaliwo ku ntandikwa y’omwaka gwa 2021.

Kigambibwa nti alina obubaka bweyayisa ku mukutu gwe ogwa facebook obwali bukuma omuliro mu bantu ku byekuusa ku byali bivudde  mu kulonda omuk weggwanga.

Ono era yateeka gavt kunninga eyimbule banna kibiina kya NUP Eddie Mutwe, James Mubiru wamu ne Nubian Lee abakwatibwa.

Omulamuzi wa Court y’okuluguudo Buganda

Gladys Kamasanyu yagobye omusango guno bwategeezezza ng’obujulizi obwaleetebwa abasirikale abasatu bwebutakakasa bulungi ani Ssegirinya gweyali akumamu omuliro.

Wabula ono wakusigala mu komera olw’emisango emilala gyakyawerennemba nagyo omuli obutujju nobutemu.