Skip to content Skip to footer

Abantu 5 bafiiridde mu kabenje e Bulambuli

Bya Juliet Nalwooga,

Abantu batano bafiiridde mu kabenje dekabusa akagudde mu disitulikiti y’e Bulambuli

Akabenje kabademu emmotoka nnamba UAR 753K (FOTON Mixer) ne pikipiki UFL 438E, Bajaji boxer.

Faridah Nampima omwogezi wa poliisi y’ebidduka agamba nti abagenzi kuliko Rogers Namawungo Emyaka 30, Mutonyi Zita 47; Rose Wasemwa, 34; n’abalala babiri abatannaba kutegeerekeka.

Emirambo gy’abafudde gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lya Muyembe Health Centre okwekebejjebwa.

Mungeri yeemu poliisi eri ku muyiggo gwa ddereeva wa mmotoka ekoze akabenje.