Skip to content Skip to footer

Abatuuze baguddemu ensisi omwana owemyaka 8 bwafiiridde mu kidiba

Bya Gertrude Mutyaba,

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Lusaana e ssembabule omwana wa mwaka gumu ne kitundu bwagudde mu kidiba kyamazzi n’afa.

Omwana afudde ategerekese nga Rihuwani Ssenfuma, muzukkulu wa Haruna Tushabe

Omwana ono okugwa mu kidiba kino abadde azanyira mu luggya okumpi nekidiba, wakati mu kwesika ne banne n’agwaayo era tasimatuse.

Ssentebe w’e kyalo kino Wilson Begayisa atubuulidde nti basobodde okujjayo omwana ono nga akyali mulamu, kyoka afudde anaatera okutuusibwa mu dwaliro

Ayogerera poliisi yeno Muhamad Nsubuga alabudde abatuuze okwewala okusima ebinya nga bino nebabireka nga si bibikeko