Amawulire

BannaNRM abaasuulibwa mu kuvuganya mu EALA bagenda mu kkooti

BannaNRM abaasuulibwa mu kuvuganya mu EALA bagenda mu kkooti

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Banakibiina kya NRM abaasuulibwa mu kalulu ka EALA batisatisiza okukuba ekibiina kya NRM mu mbuga z’amateeka.

Kinajjukirwa nti oluvanyuma lwa kakiiko ka NRM ak’okuntiko aka CEC okutuula mu ssabiiti ewedde kasazeewo nti ababaka ababadde bakikirira ekibiina mu palamenti ya East Africa bebaba basigalayo

Bano okuli Mivule Ronald, Kato Musa, Ruth Kalungi n’abalala bagamba akakiiko ka CEC tekalina buyinza kuvaayo nakusalawo kuno

Ye munnamateeka wabwe Rutaro Robert Muhairwe naye ategezeza nti CEC terina buyinza busalawo bantu balina kugenda mu palamenti ya EALA ngóbuyinza buno buli mu mikono gya kabondo ka babaka ba palamenti abava mu NRM.