Amawulire

Ababaka b’omu Acholi bagamba nti embalirira y’okuziika Oulanyah yadumuddwa

Ababaka b’omu Acholi bagamba nti embalirira y’okuziika Oulanyah yadumuddwa

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ababaka ba palamenti, mu kabondo kaabwe nga bwebava mu ttundutundu lya Acholi nabo bavuddeyo okwanukula ku sseente zembalirira yokuziika omugenzi Jacob Oulanyah, abadde sipiika wa palamenti ey’omulundi ogwe 11.

Akakiiko akategeka okuziika kabaze embalirira ya buwumbi 2 nekitundu, ngakabondo kababaka ba Acholi babagerekeddeko obukadde 312 nemitwalo 90 ezatanudde okwogeza abantu ebigambo.

Ssabawandiisi wakabondo kano, John Amos Okot nga ye mubaka wa Agago North agambye nti wabaddewo okudumuula emiwendo kubanga bbo baali basabye babawe obukadde 235 ngakakiiko akomukitundu akategeka okuziika, okubaako emirimu gyebakola.

Ku ssente zino omubaka Okot agambye nti baali bagala bapangiseeko ekibiina kya Bwola cultural dance group ku bukadde 10, okwaniriza omubiri gwomugenzi Oulanyah okuva ku kisaawe Entebbe era nokusanyusa abantu mu kusaba e Kololo neku lunnaku lw’okuziika.

Ebirala ebyasabya ssente zino, babadde bagala obukadde 72 okukola ku luguudo olwa KM 42 olutuuka mu maka gomugenzi Oulanyaha ku kyalo Lalogi, obukadde 3 zamataala awaka.

Ebirala, agambye nti basaba obukadde 72 okutekawo ebifo ebyenjawulo oba regional reception centers okukunga abantu nokubatekateeka ku bukadde 28.

Baali basaba obukadde 50 okukola ku mirimu gino na giri ku lunnaku lwokuziika.