Amawulire

Uganda esubizza okusasula DR-Congo

Uganda esubizza okusasula DR-Congo

Ivan Ssenabulya

February 21st, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisita omubeezi owensonga zebweru wegwanga, avunanyizbwa ku nkolagana yamawanga Henry Okello Oryem ategezezza nga Uganda weri mu nteseganya ne balirwana aba Democratic Republic of Congo, ku nnamula eyabawereddwa kooti yensi yonna eya International Criminal court of Justice (ICJ).

Kooti yalamudde, nebalagira Uganda okusasaula obukadde bwa $ 325 okuliwa eri DR-Congo olwokumenya amateeka ku mutendera gwensi yonna bwebalumba egwanga lino wakati wa 1998 ne 2003.

Uganda etekeddwa okusasula ssente zino mu biwagu, obukadde $ 65 okutandika ne Sebutemba womwaka guno.

Abntu babaddemu nokutya wa ssente zino wezigenda okuva, wabula Oryem akakasizza nti gavumenti egenda kutetenkanya okusasaula ssente zino atenga tebajja kwewola.

Agambye nti era baliko enteseganya zebagenda okwetabamu negwanga lino, okusobola okussa obulungi mu nkola ennamula ya kooti.