Bya Ndhaye Moses
Omuyambi era omukunzi wobuwagizi eri pulezidenti Museveni, munna NRM alajana afune obuyambi.
Nakagiri Rehmah Kyeyune owemyaka 65 yalwala enkizi, kati ali ku kistuliro mu ddwaliro e Mulago wiiki ziweze 2, okuva lwebamujja mu ddwaliro lyamagye e Bombo ngembeera ye, eyongedde okwononeka.
Bwabadde ayogerako naffe Nakagiri nyonyodde nti ali mu bulumi, talina ssente zabujanjabi nokubezaawo amaka nabantu be.
Alajanidde pulezidenti Museveni amuddukirire.