Amawulire

Ababaka ba NUP babakwatidde e Kayunga

Ababaka ba NUP babakwatidde e Kayunga

Ivan Ssenabulya

December 16th, 2021

No comments

Bya Basasi Baffe

Okulonda okwenvunula-bibya okwa ssentebbe wa disitulikiti ye Kayunga, kugenda mu maaso wakati mu bunkenke nokwemulugunya ku nsonga ezenjawulo.

Okulonda kwatandise era kugenda mu maaso naddala mu byalo, atenga mu bitundu ebyebibuga abaayo bakonkomadde ebikozesebwa tebinatukayo.

Wabula waliwo nokwemulugunya okuva mu bantu, abasasi baffe kwebatandise okulondaoola, nti waliwo ebifo abantu bwebatuuse nga nokulonda tekunatandika nga bokisi zatereddwamu dda obululu.

Kitegezeddwa nga bwewaliwo nokukwata abantu, mu bitundu ebyenjawulo nga kikolebwa abakuuma ddembe.

Twogeddeko nomulondoozi w’okulonda Joyce Nabikolo wansi wa Women’s Situation Room nagamba nti eno, okulonda kutandise ekikerezi.

Okusinziira ku kakiiko kebyokulonda, Kayunga erina abalonzi emitwalo 19 nebifo ebironderwamu 338.

Ekifó kya ssentebbe wa disitulikiti kyasigala nga kikalu, oluvanyuma lwokufa kweyali Ssentebbe Ffeffekka Sserubogo.

Abantu 6 bebavuganya ku kifo kya ssentebbe wa disitulikiti ye Kayunga okuli owa NUP Harriet Nakwedde, owa NRM Andrew Muwonge, owa DP Anthony Waddimba, abalala kuliko Jamir Kamoga, Magid Nyanzi ne Boniface Bandikubi nga bano tebalina bibiina mwebajidde.

Mungeri yeemu, ababaka ba palamenti 3 abekibiina kya National Unity Platform (NUP) bakwatiddwa neba agenti ba Harriet Nakwede, akwatidde ekibiina bendera.

Abakwate kuliko omubaka wa Rubaga South Aloysius Mukasa, Charles Tebandeke owe Bbaale nowe Busujju David Lukyamuzi Kalwanga.

Bano babakutte mu kiro ekikesezza olwaleero bwebabadde batambuza aba ganeti, ababadde balina okukuuma akalulu kaabwe.

Muno bakwatiddemu ne munnamawulire wa Daily Monitor, Michael Kakumirizi nga naye abadde wamu nabo.

Abalala abakwatiddwa kuliko Julius Mutebi, Meeya wa munisipaali ye Kira, kansala wa Rubaga South B Rose Kigozi neyakuliddemu kampeyini za Nakwede Ben Kyobe.

Alex Kimuli, omu ku bakulembeze ba NUP Kayunga, agambye nti tebanamanya mayitire ga banaabwe.

Omuddumizi wa poliisi e Kayunga Felix Mugizi byayogedde ku nsonga zokukwatibwa kwabakulembeze ba NUP, tezikwataganye teyegaanye ate takirizza.

Mu lukiiko olwatudde olunaku lweggulo, ssentebbe wakakiiko kebyokulonda Omuamuzi Simon Byabakama, yagambye nti tebagenda kukiria bubinja bwabantu abagamba nti bakuuma kalulu.