Amawulire

Olwaleero lunnaku lwaddembe lyabuntu

Olwaleero lunnaku lwaddembe lyabuntu

Ivan Ssenabulya

December 10th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Abalwanirizi beddembe lyobuntu wansi w’omukago National Coalition of Human Rights Defenders basabye gavumenti nti waberewo enkyukakyuka ezikolebwa mu mateeka agabakwatako mu gwanga.

Omulanga guno gukubidwa ssenkulu womukago guno Robert Kirenga ayogedde ku nnyingo eye 44 mu teeka erya Non- Governmental Organisations Act ngeno ekubira banakyewa okwetaba mu nsonga zebyobufuzi.

Ebirala agamba nti etteeka erya Anti-Money Laundering Act nalyo lyetaaga okuddamu okwetegereza.

Mu tteeka lino, banka yebyobusubuzi eyinza okwkengeera ssente zomuntu nbabaguliza ku kitongole ekirwanyisa ssente yekibi ekya Financial Intelligence Authority ngagambye nti kibeera kikyamu obutasooka kwebuuza ku muntu yenna oba ekitongoe ekyemulugunyizibwako.

Kirenga agambye nti mu mateeka gano mwebayita okuteeka envumbo ku akawunta zaabwe.

Olunnaku lweggulo aboukago gwabalwanirizi beddembe lyobuntu baatongozza alaipoota gyebatuumye “Human Rights Defenders at Crossroads” ngeyoleka bingi ebikyarumira mu kulwanirira eddembe lyobuntu.

Mungeri yeemu gavumenti esabiddwa okubunyisa obugagga bwegwanga kyenkanyi, mu bantu bonna.

Ssentebbe wakakiiko akobwenkanya aka Equal Opportunities Commission nga ye Sofia Nalule alaze obwetaavu okutekawo obwenkanya mu ntekateeka za gavumenti okugeza mu Operation Wealth Creation nebirala.

Buno bwebubadde obubaka bwe olwaleero, ngensi yonna yegasse okukuza olunnaku lweddembe lyobuntu.