Amawulire

Ekisaawe Ky’Entebbe kyolekedde okutwalibwa China

Ekisaawe Ky’Entebbe kyolekedde okutwalibwa China

Ivan Ssenabulya

November 25th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Uganda eyolekedde okufiirwa ekisaawe kyayo ekyennyonyi, ekye Entebbe waliwo okutya nti kyanditwalibwa nebyobugagga byegwanga ebirala.

Kino kyadirirdde egwanga lya China okugaana okusaba kwa Uganda, okuddamu ookuteseganya ku buwayiro obubanyingiriza mu ndagaano eyataukibwako bwebaali babawola obukadde bwa $ 200 nga bwebuwumbi bwa skilingi za Uganda 700 okugaziya ekisaawe ky’Entebbe.

Endagaano eno yatukibwako emyaka 6 emabega.

Uganda yateeka emikono ku ndagaano ne Export-Import (Exim) Bank of China nga 31 mu March wa 2015, wabula ssinga ebimu tebiddemu okukanyizibwako Uganda eri mu Kabi.

Kati Uganda eriko ekibinja kyabakungu 11, bebasindise mu kibuga Beijing okuddamu okwetaba mu nteseganya naba Exim Bank ku buwayiro obwenjawulo.

Ekibinja kino kikulembeddwamu Dr Chrispus Kiyonga, omubaka wa Uganda atuula e China.