Bya Benjamin Jumbe,
Omukulembeze wéggwanga Museveni wakwogerako eri eggwanga olunaku lwaleero akawungeezi.
Museveni wakwogera ku ssaawa bbiri ezekiro nga asuubirwa okutangaza ku mbeera ye kirwadde kya covid-19 nga bweyimiridde mu ggwanga nokwongera ku mbeera eyebyokwerinda.
Kino kidiridde abatujju okukuba boomu mu kampala ne mufiiramu abantu 7 na basoba 30 ne balumizibwa.
Abatujju ba Islamic state bavaayo ne besom anti bebakola obulumbaganyi buno.